2 Corinthians 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tetusukka we twapimirwa ng'abataabatuukako; ate nno ffe twasookera ddala okubatuukako, nga tujja n'Evangili ya Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera kye tulina, kubanga nammwe twabatuusaako Enjiri ya Kristo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli; kubanga era twajja n'okutuuka gye muli mu Njiri ya Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga mmwe bwe muli mu kitundu Katonda kye yatugerera, tetwakibuuka bwe twajja gye muli nga tubategeeza Amawulire Amalungi agafa ku Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli: kubanga era twajja n'okutuuka gye muli mu njiri ya Kristo: