2 Corinthians 10:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno tetwetendera mu by'abalala bye baakola kisukkiridde. Naye okukkiriza kwammwe bwe kunaaba kunnywedde, omulimu gwaffe mu mmwe tusuubira okugugaziyiza ddala okusinziira ku bipimo byaffe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga tetwenyumiriza kusinga omulimu abalala gwe baakola, naye nga tulina essuubi nti ng’okukkiriza kwammwe bwe kugenda kweyongera, n’omulimu gwaffe gugenda gweyongera,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala; naye nga tusuubira, okukkiriza kwammwe bwe kukula okugulumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tetwenyumiriza lwa mulimu abalala gwe baakola ebweru w'ekitundu Katonda kye yatugerera. Wabula tusuubira nti okukkiriza kwammwe nga bwe kugenda kweyongera, era n'omulimu gwaffe mu mmwe gweyongera okugaziwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala: naye nga tusuubira, okukkiriza kwammwe bwe kukula okugulumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira,