2 Corinthians 10:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mbeegayiridde nti nga ndi nammwe mumponye okukozesa amaanyi n'okwemanya bye njagala okukozesa eri abo abatuteebereza okuba nga tweyisa mu ngeri ya nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mbegayirira wadde ssiriiwo, bwe ndijja nneme kwogeza maanyi nga bwe nkola eri abantu abamu abatulowooleza okuba nga tugoberera bya mubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mbeegayirira bwegayirizi, bwe ndiba nga ndi nammwe, nneme okubalaga obuzira obwo bwe nkozesa eri abalala abalowooza nga ffe tutambula okugobereranga omubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbasaba nti bwe ndiba nga ndi nammwe, muleme kundeetera kwogeza maanyi, ge nkozesa eri abalala abalowooza nti tugoberera bya nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale mbeegayirira bwegayirizi, lwe ndibaawo nneme okubalaga obuzira obwo bwe ndowooza okuba nabwo eri abalala abalowooza nga ffe tutambuIa okugobereranga omubiri.