2 Corinthians 10:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga eby'okulwanyisa bye tukozesa mu lutabaalo lwaffe si bya mu nsi, wabula ebyo ebirina amaanyi ga Katonda okuzikiriza ebigo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga ebyokulwanyisa byaffe eby’olutalo, si bya mubiri wabula bya maanyi mu Katonda olw’okuwangula ebigo, n’olw’okuwangula endowooza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga eby'okulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye birina amaanyi agava eri Katonda olw'okusaanyawo ebigo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyokulwanyisa byaffe mu lutalo, tebiri ng'eby'ab'ensi, wabula birina amaanyi agava eri Katonda, okusaanyaawo ebigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo);