2 Corinthians 10:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutunuulire ekyo ekibali mu maaso: oyo eyeekakasa nti wa Kristu, addemu yejjukize nti wa Kristu, ate nti naffe bwe tuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutunuulira ebintu nga bwe birabika kungulu. Omuntu yenna bw’alowooza munda mu ye okuba owa Kristo, ekyo akirowooza ku ye yekka, nti nga naffe tuli ba Kristo nga ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutunuulire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenna bwe yeekakasa muli nga wa Kristo yeerowooze kino nate yekka nti nga ye bw'ali owa Kristo, era naffe bwe tutyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe ebintu nga bwe biri. Omuntu bwe yeerowooza nti wa Kristo, ajjukire nti naffe tuli ba Kristo nga ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mutunuulire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenna bwe yeewulira muli nga wa Kristo yeerowooze kino nate yekka nti nga ye bw'ali owa Kristo, era naffe bwe tutyo.