2 Corinthians 10:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe naddamu okwetenda ne mpitirizaamu olw'obuyinza Omukama bwe yatuwa olw'okubazimba, sso si olw'okubazikiriza, ekyo tekijja kunkwasa nsonyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw’obuyinza bwe tulina, Mukama bwe yatuwa olw’okubazimba so si lwa kubassa wansi, sirikwatibwa nsonyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw'obuyinza bwaffe, Mukama waffe bwe yatuwa olw'okubazimba, so si lwa kubasuula, mu byonna ssirikwatibwa nsonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tekinkwasa nsonyi ne bwe mba nga nsukkirizza okwetenda olw'obuyinza bwa Mukama bwe yatuwa olw'okubazimba, sso si olw'okubazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw'obuyinza bwaffe (Mukama waffe bwe yatuwa olw'okubazimba, so si lwa kubasuula), ssirikwatibwa nsonyi: