2 Corinthians 11:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwongera okukola kye mbadde nkola, ndyoke ntwale omukisa gw'abo abanoonya omukisa gw'okuyisibwa nga ffe mu mulimu gw'okuyigiriza gwe beetendamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nzija kweyongera okukola nga bwe nkola ndyoke nziggyewo omukisa eri abo abaagala okukozesa omukisa ogwo abaagala okulabika nga ffe mu kwenyumiriza kwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo kye nkola, nja kweyongera okukolanga bwentyo, ndyoke nziyize abo abeenyumiririza mu butume bwabwe, nga bagamba nti bakola nga bwe tukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Njija kweyongera okukola ekyo kye nkola kaakano, ndyoke nziyize abo abeenyumiririza mu butume bwabwe, nga bagamba nti bakola nga bwe tukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe nkola, era bwe nnaakolanga, mbaggirewo awasinziirwa abo abaagala awasinziirwa, balabike era nga ffe mu kigambo kye beenyumiririzaamu.