2 Corinthians 11:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nziramu okugamba: tewabangawo andowooza kubeera musiru; oba bwe mulowooza, kale mumpise ng'omusiru, mumpe bwe mutyo omukisa ogw'okwetendamu akatono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nziramu okubagamba nti omuntu yenna aleme kundowooza kuba musirusiru; kyokka ne bwe mundowooza okuba omusirusiru, munsembeze, nange neenyumirizeeko katono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nziramu okugamba nti Omuntu yenna aleme okundowooza nga ndi musirusiru; naye okulowooza bwe mundowooza bwe mutyo, kale munsembeze ng'omusirusiru, nange nneenyumirizeeko akatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nziramu okugamba nti waleme kubaawo n'omu alowooza nti ndi musirusiru. Naye ne bwe mundowoozaako bwe mutyo, waakiri munzikirize mu busiru bwange nange nneenyumirizeeko akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Njogera nate nti Omuntu yenna aleme okundowooza nga ndi musirusiru; naye okulowooza bwe mundowooza bwe mutyo, naye munsembeze ng'omusirusiru, nange nneenyumirizeeko akatono.