2 Corinthians 11:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbabubira n'okububira kwa Katonda, anti naboogereza ewa Kristu, njagala mbanjule ng'omuwala embeerera, omutukuvu, ew'omusajja omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mbakwatirwa obuggya bwa Katonda; kubanga nnabafumbiza bbammwe omu Kristo, ndyoke mbaleete gyali nga omuwala omulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbalinako ebbuba nga Katonda ly'abalinako, kubanga nabaleeta eri Kristo aboogereze, nga muli ng'omuwala embeerera aweebwayo eri bba omu yekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mbakwatirwa obuggya bwa Katonda: kubanga nnabafumbiza bbammwe omu, ndyoke mbaleete eri Kristo nga omuwala omulongoofu.