2 Corinthians 11:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo baweereza ba Kristu? Ka njogere ng'agudde eddalu, nze mbasinga: mbasinga mu bungi bw'emirimo, mu kusibibwa mu makomera, mu kukubibwa emiggo emiyitirivu; mirundi mingi katono nfe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagamba nti baweereza ba Kristo? Nga njogera ng’agudde eddalu, nze mbasinga; Mbasinga okukola ennyo, era nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi okubasinga, n’emirundi gye nkubiddwa mingi okusingawo, era emirundi mingi ne mba kumpi n’okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bo baweereza ba Kristo? (njogera ng'omulalu) Nze mbasinga; mu kufuba mbasukkirira, mu kusibibwa mbasukkirira, mu kukubibwa okuyingirira ennyo, era emirundi mingi nga mbulako katono okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bo baweereza ba Kristo? (Njogera ng'omulalu), nze mbasinga. Mbasinga okukola ennyo. Nsibiddwa mu makomera emirundi mingi okusinga bo. Nkubiddwa nnyo okubasinga, era emirundi mingi nabulako katono okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bo baweereza ba Kristo? (njogera ng'omulalu) nze mbasinga; mu kufuba mbasukkirira, mu kusibibwa mbasukkirira, mu kukubibwa okuyingirira ennyo, mu kufa emirundi emingi.