2 Corinthians 11:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakubibwa emiggo emirundi esatu; lumu bankuba amayinja; emirundi esatu ng'amaato ge nalimu gasaanawo; ekiro kimu n'olunaku lumu nga ndi ku nnyanja nteeyenga;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nakubwa emiggo emirundi esatu. Omulundi gumu nakubwa amayinja. Emirundi esatu ekyombo kye nalingamu kyamenyeka. Olulala ne nsula era ne nsiiba mu buziba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emirundi esatu (3) nnakubibwa enga, omulundi gumu nnakasuukirirwa amayinja, emirundi esatu (3) eryato lyayatika, nnasula ne nsiiba mu buziba bw'ennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirundi esatu nakubibwa enga, era olumu nakubibwa amayinja. Eryato lyatwonoonekako emirundi esatu, ne nsula era ne nsiiba mu buziba bw'ennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emirundi esatu nnakubibwa enga, omulundi gumu nnakasuukirirwa amayinja, emirundi esatu eryato lyamenyeka, nnasula ne nsiiba mu buziba;