2 Corinthians 11:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ntya nti ng'omusota bwe gwalimbalimba Eva n'obukujjukujju bwagwo, n'ebirowoozo byammwe byandiwugulwa ne muva ku kwemaliza Kristu mu mazima ne mu butukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyokka neeraliikirira nnyo nga ntya nti si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze n’obutukuvu obuli mu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ntidde, nti ng'omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukujjukujju bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe biyinza okukyamizibwa muleme okweweerayo ddala mu mazima eri Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ntya nti ng'omusota bwe gwalimbalimba Haawa olw'obukujjukujju bwagwo, ebirowoozo byammwe bijja kubakyamya, muleme okweweerayo ddala eri Kristo mu mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ntidde, ng'omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe okwonoonebwanga mu kulaba wamu ne mu bulongoofu ebiri eri Kristo.