2 Corinthians 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nali eyo ewammwe nga ndi mu bwetaavu, mpaawo gwe nakaluubiriza, kubanga bye nali mbulwako abooluganda abaava e Masedoniya be baabiwanga. Mu byonna saayagala kubakaluubiriza, era siribakaluubiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bwe nnali nammwe ne mbaako bye neetaaga, ssaazitoowerera muntu yenna kubanga abooluganda abaava e Makedoniya bampanga byonna bye nnali neetaaga, ne neekuuma nnyo obutabazitoowerera mu buli kintu, era nzija kwongera okwekuuma bwe ntyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe nnabanga nammwe nga nneetaaga, ssaazitoowereranga muntu yenna; kubanga ab'oluganda abaava mu Makedoni, bandeetera byonna bye nali nneetaaga. Mu byonna nneekuuma era nja kwekuumanga obutabazitoowereranga, mu ngeri yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe nabanga nammwe nga neetaaga, siriiko n'omu ku mmwe gwe nazitoowerera. Abooluganda abaava mu Makedooniya bandeetera byonna bye nali neetaaga. Nali mwegendereza, era njija kwegenderezanga nneme okubazitoowerera mmwe mu ngeri yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bwe nnabanga nammwe nga nneetaaga, ssaazitoowereranga muntu yenna; kubanga ab'oluganda bwe baava mu Makedoni, baatuukiriza ebyali bimbuze; ne mu byonna nneekuuma obutabazitoowereranga, era nneekuumanga bwe ntyo.