2 Corinthians 12:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lwa Kristu kyenva nsanyukira mu bunafu bwange, mu bivumo, mu bizibu, mu biyigganyizo ne mu bubenje, kubanga bwe mba omunafu lw'emba ow'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenva nsanyukira mu bunafu, mu kuvumibwa, mu bizibu, mu kuyigganyizibwa, mu binzitoowerera, ku lwa Kristo, kubanga buli bwe mba omunafu, olwo nga ndi wa maanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale olwa Kristo, kyenva nsanyukira obunafu, okugirirwanga ekyejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale olwa Kristo nsanyukira obunafu, okuvumibwa, ebizibu, okuyigganyizibwa era n'ebinkaluubirira, kubanga lwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenva nsanyukira eby'obunafu, okugirirwanga eky'ejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.