2 Corinthians 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nasiriwadde! Mmwe mubinjagazizza, anti mmwe mwandibadde ab'okutenda. Anti ddala siri mutene mu maaso g'abo abatume abakulu, newandibadde nga siri kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mwampaliriza okufuuka omusirusiru. Noolwekyo mmwe musaana okunjogerako kubanga abatume abakulu abawagulu tebalina na kimu kye bansinza, newaakubadde nga nze siri kintu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbadde musirusiru! Mmwe mwampaliriza; kubanga nnagwanira mmwe okuntendereza; kubanga newakubadde nga nze siri kintu, naye abatume abo abakulu ennyo, tebansinga mu kigambo kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nfuuse ng'omusirusiru, naye mmwe mumpalirizza. Mmwe mwandibadde ab'okunsiima. Kuba newaakubadde nga siriiko bwe ndi, naye abo abatume abakulu ennyo, tebalina kye bansingamu n'akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nfuuse musirusiru: mmwe mwampaliriza; kubanga nnagwanira okutenderezebwa mmwe; kubanga ssaasingibwa mu kigambo kyonna abatume abakulu ennyo, newakubadde nga nze siri kintu.