2 Corinthians 12:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale mmwe muli bubi ki okusinga ekleziya endala? Mpozzi kimu kyokka, nze obutabaako kye mbakaluubirizaamu. Ensobi eno muginsonyiwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingira, wabula nze kennyini obutabazitoowereranga. Munsonyiwe ekyonoono ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingamu, okuggyako nze nzekka obutabazitoowereranga? Munsonyiwe ekyonoono ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ebibiina ebirala eby'abakkiriza Kristo, bibasinza ki? Okuggyako nti nze saabazitoowerera mmwe. Munsonyiwe olw'obutaba mwenkanya mu kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingiramu, wabula nze nzekka obutabazitoowereranga? munsonyiwe ekyonoono ekyo.