2 Corinthians 12:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti nzuuno neetegese okujja ewammwe omulundi ogwokusatu; era sijja kubaako kye mbakaluubirizaamu, kubanga ebyammwe si bye nnoonya, wabula mmwe. Anti abaana si be baterekera ababazaala, wabula abazadde be baterekera abaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba guno mulundi gwa kusatu nga nneeteeseteese okujja gye muli, era sijja kubazitoowerera, kubanga ebyammwe si bye njagala, wabula njagala mmwe. N’ekirala, mmwe muli baana bange; abaana si be baterekera bazadde baabwe eby’obugagga, wabula abazadde be baterekera abaana baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, omulundi ogwokusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera, kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe, kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano neeteeseteese okujja gye muli omulundi ogwokusatu, naye sijja kubazitoowerera. Sibanoonyaako byammwe, wabula noonya mmwe. Abaana si be basaana okuterekeranga abazadde baabwe, wabula abazadde be basaana okuterekeranga abaana baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, omulundi ogw'okusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera: kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe: kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana.