2 Corinthians 12:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze nzennyini nzija kwewaayo nga ndi musanyufu, era nzija kuweebwayo olw'okubeera emyoyo gyammwe. Bwe mbaagala bwe ntyo, ate olwo mmwe ne mukendeeza mu ku njagala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nzija kusanyuka nnyo okwewaayo gye muli, nze ne byonna bye nnina olw’emyoyo gyammwe, newaakubadde nga nze gye nkoma okubaagala ennyo, ate mmwe okwagala kwammwe gye ndi gye kukoma okukendeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndiwaayo ebyange, era nange ndyeweerayo ddala ku lwammwe, nga ndi musanyufu. Kale bwe mbaagala ennyo, mmwe musaana kunjagala katono?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze njija kuwaayo ebyange, era nange nneeweereyo ddala ku lwammwe, nga ndi musanyufu nnyo. Kale bwe mbaagala ennyo, mmwe musaana kunjagala katono?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndiwaayo era ndiweebwayo n'essanyu eringi olw'obulamu bwammwe. Bwe nsinga okubaagala ennyo, njagalibwa katono?