2 Corinthians 12:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waliwo omu ku abo be nabatumira gwe nayitamu okubalyakula?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu abo be nabatumira, ani gwe nakozesa okubafunamu amagoba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo amagoba gonna ge nnafuna okuva gye muli okuyita mu abo be nnabatumira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu abo be nabatumira, mulimu gwe nakozesa okubalyakula?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna gwe nnabatumira nnamufunya amagoba eri mmwe?