2 Corinthians 12:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neegayirira Tito ajje, ne mutumirako n'owooluganda. Tito ye yabalyakula? Ffembi tetwali ba mutima gumu? Ekisinde tetwakwata kimu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nakuutira Tito okujja, ne ntuma n’owooluganda omulala awamu naye; Tito yeeyabafunako amagoba? Tetwatambulira mu mwoyo gumu? Tetwatambulira mu kisinde kimu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Neegayirira Tito okugenda, era ne ntuma ow'oluganda omulala awamu naye. Tito yafuna amagoba gonna okuva gye muli? Ye nange tetwakolera mu mwoyo gumu? Tetwatambulira mu kisinde kimu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Neegayirira Tito okujja gye muli, era ne ntuma owooluganda omulala awamu naye. Tito oyo ye yabalyakula? Ye nange tetwakolera mu mutima gumu? Era tetwakwata kkubo limu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnabuulirira Tito, ne ntuma ow'oluganda awamu naye. Tito yafuna amagoba eri mmwe? tetwatambula n'Omwoyo omu? tetwatambulira mu kisinde kimu?