2 Corinthians 12:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno obwedda mulowooza nti twewozaako gye muli? Tubadde twogera mu maaso ga Katonda mu Kristu, nga mu byonna, abaagalwa, tugenderera kubazimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obw’edda mwalowooza nga mwetoowaza mu maaso ga Katonda. Naye abaagalwa ebintu byonna tubyogerera mu Kristo olw’okubazimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obw'edda mulowoozezza nga ffe twewolereza mu maaso gammwe? Mu maaso ga Katonda twogerera mu Kristo. Naye byonna, abaagalwa, twogera bya kubazimba mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obw'edda mulowooza nti twewolereza mu maaso gammwe? Abaagalwa, ffe abagoberezi ba Kristo byonna bye twogera, tubyogerera mu maaso ga Katonda olw'okubagasa mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obw'edda mulowoozezza nga ffe tubawoleza ensonga. Mu maaso ga Katonda twogerera mu Kristo. Naye byonna, abaagalwa, bya kubazimba mmwe.