2 Corinthians 12:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmanyi omuntu omu mu Kristu, emyaka kkumi n'ena emabega, eyasitulibwa n'atwalibwa mu ggulu eryokusatu. Oba yali mu mubiri oba si mu mubiri, simanyi; Katonda y'amanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo omusajja wa Kristo gwe mmanyi, emyaka kkumi n’ena egiyise yatwalibwa mu ggulu eryokusatu. Naye oba yatwalibwa ng’ali mu mubiri, oba nga tali mu mubiri, nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmanyi omuntu mu Kristo, emyaka ekkumi n'ena (14) egiyiseewo eyatwalibwa mu ggulu eryokusatu, oba mu mubiri, oba si mu mubiri, ssimanyi; Katonda ye amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi omugoberezi wa Kristo eyatwalibwa mu ggulu erya waggulu ennyo, kati emyaka kkumi n'ena egiyiseewo. Simanyi oba nga ekyo kyabeererawo ddala, oba nga kwali kulabikirwa. Simanyi, Katonda ye amanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmanyi omuntu mu Kristo, eyaakamala emyaka ekkumi n'ena (oba mu mubiri, ssimanyi; oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi), okutwalibwa omuntu ali bw'atyo mu ggulu ery'okusatu.