2 Corinthians 12:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ntya nti oboolyawo nnyinza okujja ne sibasanga nga bwe nandyagadde, nange ne mutansanga nga bwe mwandyagadde; oboolyawo ne wabaawo mpaka, buggya, busungu, kwefaako, kuwaayiriza, ŋŋambo, lunkulu, kutabangula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kye ntya oboolyawo kwe kubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; oboolyawo nga waliwo okuyomba, n’obuggya, n’obusungu, n’okwawukana, n’okugeyaŋŋana, n’olugambo, n’okwekuluntaza, n’okutabukatabuka;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ntidde, bwe ndijja, mpozzi nneme okubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe muleme okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; mpozzi ne wabaawo okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumiza, n'okujeema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye ntya, kwe kujja mpozzi ne mbasanga nga muli nga bwe saagala, oba mmwe okundaba nga nninga bwe mutayagala, olwo mpozzi ne wabaawo okuyombagana, obuggya, obusungu, okwefaako, okugeyaŋŋana, olugambo, okwekulumbaza, era n'okutabukatabuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ntidde, bwe ndijja, mpozzi okubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe muleme okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; mpozzi okubeera eyo okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumiza, okujeema;