2 Corinthians 12:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ntya nti oboolyawo bwe najja eyo Katonda yandintoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abangi abayonoona edda naye nga tebanneenenya eby'obuseegu, obwenzi n'obugwenyufu bye baakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe ndijja nate, Katonda wange aleme kuntoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abo bonna abaayonoona edda, ne bateenenya obutali bulongoofu, n’obwenzi, n’obugwagwa bye baakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ntya nti bwe ndijja nate, Katonda wange alintoowaza mu maaso gammwe, nange ne nakuwalira abangi abaayonoona edda ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ntya nti bwe ndijja nate, Katonda wange alintoowaza mu maaso gammwe, ne nkungubagira bangi abaakola ebibi ne bateenenya bukaba, n'obwenzi, n'obugwagwa bye baakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe ndijja nate, Katonda wange aleme okuntoowaza eri mmwe, nange okubanakuwalira abangi abaayonoona edda ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola.