2 Corinthians 12:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmanyi ng'omuntu oyo, yasitulibwa n'atwalibwa mu kifo ky'okwesiima, oba yali mu mubiri, oba si mu mubiri, simanyi; Katonda y'amanyi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mmanyi ng’omuntu oyo, oba mu mubiri oba ng’aggiddwa mu mubiri nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mmanyi nti omuntu oyo oba mu mubiri, oba si mu mubiri, ssimanyi; Katonda ye amanyi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mmanyi nti omuntu oyo, (oba nga ekyo kyabeererawo ddala, oba nga kwali kulabikirwa, simanyi, Katonda ye amanyi),
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, mmanyi omuntu ali bw'atyo (oba mu mubiri, oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi),