2 Corinthians 12:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe njagala okwetenda, sandibadde musiru, kubanga naaba njogera mazima. Naye sijja kukikola, wabulewo andowoozaako ebisinga ku ebyo by'andabamu oba by'ampulirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne bwe nandiyagadde okwenyumiriza, sandibadde musirusiru kubanga nandibadde njogera mazima, naye saagala muntu yenna andowoozeeko nti ndi wa waggulu nnyo okusinga we yandintadde ng’asinziira ku ebyo by’andabamu oba by’ampulirako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba singa nnayagala okwenyumirizanga, ssandibadde musirusiru; kubanga mba njogera mazima; naye mbireka omuntu yenna aleme kulowooza ku nze okusinga kyandabamu oba kyawulira gyendi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ne bwe nandyagadde okwenyumiriza, sandibadde musirusiru, kubanga nandyogedde mazima. Naye ka nkireke, kubanga saagala wabeewo muntu n'omu andowoozaako bisinga ku ebyo by'andabamu, ne by'awulira njogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba singa nayagala okwenyumirizanga, ssandibadde musirusiru; kubanga nandyogedde amazima: naye ndeka, omuntu yenna alemenga okundowooza okusinga bw'andaba oba bw'ampulira.