2 Corinthians 12:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okunziyiza okwewanika olw'ebiyitirivu ebyambikkulirwa, naweebwa eriggwa mu mubiri gwange, malayika wa Sitaani ankube, nneme kwewanika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okusingira ddala okubikkulirwa kwe nafuna. Noolwekyo olw’obutagulumizibwa nnyo, kyenava nfumitibwa eriggwa mu mubiri, ye mubaka wa Setaani, ankube nneme okugulumizibwa ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olw'okunziyiza okwegulumiza ennyo, olw'ebyo ebyambikkulirwa, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okumbonyaabonya, nnemenga okugulumizibwa ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olw'okunziyiza okwekulumbaza olw'ebintu ebyewuunyisa bye nalaba emirundi emingi, naweebwa obulumi obungi mu mubiri gwange, nga ye mubaka wa Sitaani, ambonyeebonye, nneme kwekulumbaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'olw'obukulu obusinga ennyo obw'ebyo ebyabikkulibwa, nnemenga okugulumizibwa ennyo, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga, nnemenga okugulumizibwa ennyo.