2 Corinthians 12:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
yanziramu kimu nti: “Eneema yange ekumala; amaanyi gange geeragira mu bunafu.” Awo nno nzija kweetendera mu bunafu bwange n'okusingawo ate nga ndi musanyufu, amaanyi ga Kristu galyoke gambeereko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala; kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu.” Kyenaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kyokka yaŋŋamba nti: “Obuyambi bwe nkuwa bukumala, kubanga amaanyi gange galabikira mu bunafu bwo.” Kyennaavanga nsanyuka okwenyumiriza olw'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gabeere mu nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.