2 Corinthians 13:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mpandiise bino nga nkyali eno wala nammwe, nga nzize nneme kubeera mukambwe nga neeyambisa obuyinza Omukama bwe yampa okuzimba sso si okuzimbulula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbawandiikira kubanga siri nammwe, bwe ndijja nneme kubakambuwalira, okusinziira ku buyinza Mukama bwe yampa okubazimba, so si okubazikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenvudde mpandiika ebyo nga ssiri eyo, bwe mbeera eyo nneme okuba omukambwe, ng'obuyinza bwe buli Mukama waffe bwe yampa olw'okuzimba, so si lwa kumenya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino mbibawandiikidde nga sinnajja gye muli, bwe ndijja nneme okuba omukambwe mu kukozesa obuyinza Mukama bwe yampa okubazimba, sso si okubazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenvudde mpandiika ebyo nga ssiri eyo, bwe mbeera eyo nneme okuba omukambwe, ng'obuyinza bwe buli Mukama waffe bwe yampa olw'okuzimba, so si lwa kumenya.