2 Corinthians 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo, luli abaali boonoonye era n'abalala bonna, mbagamba kye kimu kati nga siri eyo, nga bwe nali mbagambye ku lukyala lwange olwokubiri, nti bwe naaba nzize nate, sijja kubasaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabalabula era mbalabula nga bwe nabalabula bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano nga ssiriiyo, abo abaayonoona edda n’abalala bonna, nti bwe ndikomawo ssirisaasira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnalaalika era ndaalika, nga bwe nnakola bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano bwe ntyo nga ssiriiyo, mbagamba abo abaayonoona edda n'abalala bonna, nti bwe ndijja nate, ssirisaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nammwe ku mulundi ogwokubiri nalabula abo abaayonoona edda, era nalabula n'abalala bonna. Ne kaakano, newaakubadde nga siri nammwe, nziramu okubalabula nti bwe ndijja, siribaako gwe nsaasira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnalaalika era ndaalika, nga bwe nnakola bwe nnali eyo omulundi ogw'okubiri, era ne kaakano bwe ntyo nga ssiriiyo, mbagamba abo abaayonoona edda n'abalala bonna, nti bwe ndijja nate, ssirisaasira;