2 Corinthians 13:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbu munoonya obukakafu oba Kristu anjogereramu; oyo si munafu ng'abakolako, wabula wa buyinza mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe munoonya okukakasa oba nga njogerera mu Kristo, atali munafu gye muli, wabula ow’amaanyi mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga munoonya ekikakasa nga Kristo ayogerera mu nze; Kristo oyo si munafu nga akolagana nammwe, naye alina amaanyi mu mmwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bulijjo mmwe mwagala ekikakasa nti Kristo ayogerera mu nze. Kristo oyo tabafuza bunafu, wabula aba wa maanyi mu nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga munoonya ekitegeeza nga Kristo ayogerera mu nze; atali munafu eri mmwe, naye alina amaanyi mu mmwe: