2 Corinthians 13:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bunafu baamukomerera, naye kati mulamu olw'amaanyi ga Katonda; naffe weewaawo tuli banafu mu ye, naye naffe tuliba balamu gye muli wamu naye olw'amaanyi ga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga newaakubadde nga yakomererwa mu bunafu, kyokka mulamu mu maanyi ga Katonda. Naffe tuli banafu mu mibiri gyaffe nga tuli mu ye, naye tuliba balamu mu ye olw’amaanyi ga Katonda olw’omulimu gwe tukola mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yakomererwa mu bunafu, naye mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Kubanga naffe tuli banafu mu ye, naye mu kukolagana nammwe tuliba balamu awamu naye olw'amaanyi ga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga newaakubadde yakomererwa ku musaalaba nga munafu, kyokka mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Naffe mu ye tuba banafu. Kyokka mu kukolagana nammwe, tujjanga kuba naye mu maanyi ga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yakomererwa olw'obunafu, naye mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Kubanga naffe tuli banafu mu ye, naye tuliba balamu awamu naye olw'amaanyi ga Katonda eri mmwe.