2 Corinthians 13:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwekebere mulabe oba muli mu kukkiriza. Mwegeze mwennyini. Temulaba nga Yezu Kristu ali mu mmwe? Okuggyako mpozzi ng'ekigezo kibalemye!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mwekka. Oba temutegeera mwekka nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozzi ng'ekigezo ekyo kibalemye!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwekebere era mwegeze mulabe oba nga mukyanyweredde mu kukkiriza. Temumanyi nti Kristo ali mu mmwe? Mpozzi ng'ekigezo ekyo kibalemye!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mwekka. Oba temwetegeera mwekka nga Yesu Kristo ali mu mmwe? wabula nga muli abatasiimibwa.