2 Corinthians 13:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsuubira nga mujja kuzuula nga ffe ekigezo tekyatulema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nsuubira nga mumanyi nti tetuli abataakakasibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nsuubira nga mulitegeera nga ffe tetulemeddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nsuubira nti mujja kumanya nti ffe tetulemeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nsuubira nga mulitegeera nga ffe tetuli batasiimibwa.