2 Corinthians 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama tumuwanjagira muleme kukola kibi, si lwa kwagala kulabika nti ekigezo twakisinga, wabula nti mukola ekituufu newandibadde nga tulabika ng'abaalemwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano tubasabira eri Katonda obutakola kibi na kimu, si lwa kwagala kulabika nga tusiimibwa, wabula mmwe mukole ebirungi, ffe ne bwe tunaasigala nga tetusiimibbwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tusaba Katonda mmwe mulemenga okukola obubi bwonna; si ffe okulabika ng'abasiimibwa, wabula mmwe okukolanga obulungi, ffe ne bwe tulibeera ng'abatasiimibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye tusaba Katonda, muleme kukola kibi, si lwa kwagala kulabika nti twakola bulungi, wabula mmwe mukole ekituufu, ffe ne bwe tunaalabika ng'abalemeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tusaba Katonda mmwe mulemenga okukola obubi bwonna; si ffe okulabika ng'abasiimibwa, wabula mmwe okukolanga obulungi ffe ne bwe tulibeera ng'abatasiimibwa.