2 Corinthians 13:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tusanyuka bwe tuba abanafu naye nga mmwe muli ba maanyi. Ekyo kye tusaba ne mu ssaala zaffe nti mweyongere mu bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffe kitusanyusa bwe tuba abanafu, mmwe ne muba ab’amaanyi. Tubasabira mmwe okuzzibwa obuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, nammwe bwe muba n'amaanyi; era na kino tukisaba, mmwe okutuukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, naye mmwe ne muba ab'amaanyi. Era kye tubasabira mmwe eri Katonda, kwe kutuukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, nammwe bwe muba n'amaanyi: era na kino tukisaba, mmwe, okutuukirira.