2 Corinthians 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba waliwo gwe musonyiwa, nange mmusonyiye. Nange nga mbaddeko kye nsonyiwa, oba waliwo eky'okusonyiwa, nkisonyiwa ku lwammwe mu maaso ga Kristu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe musonyiwa omuntu mu nsonga yonna, nange mmunsonyiwa, kubanga bwe mba nga nsonyiye, nsonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye nsonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli gwe musonyiwa, nange mmusonyiwa. Nange kye nasonyiwa, oba nga weekiri, nakisonyiwa ku lwammwe, mu maaso ga Kristo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye nsonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo;