2 Corinthians 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe najja e Turowa okuyigiriza Evangili ya Kristu, oluggi lwanzigulirwawo mu Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe natuuka mu Tulowa olw’enjiri ya Kristo, Mukama n’anzigulirawo oluggi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe nnajja mu Tulowa olw'Enjiri ya Kristo, era oluggi bwe lwanzigulirwawo mu Mukama waffe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe natuuka mu Turoowa okutegeeza abantu Amawulire Amalungi aga Kristo, newaakubadde nasanga nga Mukama anziguliddewo oluggi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe nnajja mu Tulowa olw'enjiri ya Kristo, era oluggi bwe lwanzigulirwawo mu Mukama waffe,