2 Corinthians 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda yeebale, oyo mu Kristu atukulemberamu bulijjo mu lukumba olw'obuwanguzi, ate ayita mu ffe n'agenda ng'abunya wonna akawoowo ak'okumanyibwa kwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, n’akawoowo ak’okumanya, ke tubunyisa wonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawanguzi mu Kristo, era naatukozesa okumumanyisa mu bantu bonna, ng'evvumbe erisaasanira wonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Katonda yeebazibwe, atuwanguza bulijjo olwa Kristo. Katonda ye atukozesa okumanyisa Kristo mu bantu bonna, era Amawulire Amalungi gali ng'akawoowo akasaasaanira wonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawangula mu Kristo, n'atubikkuza evvumbe ery'okumutegeera ye mu buli kifo.