2 Corinthians 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku bamu kaba kuwunya kwa kufa okutwala mu kufa; ate ku balala kawoowo ka bulamu akatwala mu bulamu. Ani asaanira omulimu ogwenkana awo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eri abo ababula tuli vvumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri abalokoka tuli vvumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo ani abiyinza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu abo abazikirira, tuli kivundu kya lumbe ekireeta okufa. Naye mu abo abalokolebwa, tuli kawoowo ka bulamu, akaleeta obulamu. Kale ebyo ani abisobola?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eri abo ababula tuli vvumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri bali tuli vvumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo ani abiyinza?