2 Corinthians 2:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffe obutaba ng'abangi bwe bakola, ekigambo kya Katonda tetugenda nga tukibunza tutyo ng'eky'okutunda, wabula ng'abantu abeesimbu, ng'abantu Katonda b'atumye, tukyogera mu Kristu mu maaso ga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tetuli ng’abangi abakozesa ekigambo kya Katonda olw’okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tetuli nga bali abasinga obungi, abatabanguzi b'ekigambo kya Katonda, naye ng'abantu ab'amazima era abaatumibwa Katonda, bwe tutyo mu maaso ga Katonda bwe twogera mu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tetuli ng'abangi abo abakozesa ekigambo kya Katonda olw'okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe, kubanga twatumibwa Katonda, twogera nga tetuliimu bukuusa mu maaso ga Katonda, nga tuli mu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tetuli nga bali abasinga obungi, abatabanguzi b'ekigambo kya Katonda; naye olw'amazima, naye olwa Katonda, mu maaso ga Katonda, bwe tutyo bwe twogera mu Kristo.