2 Corinthians 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nawandiika nga bwe nakola, nga nzize nneme kunakuwazibwa ate abantu abandibadde bansanyusa. Mbeesiga mwenna, essanyu lyange ly'essanyu lyammwe mwenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyennava mbawandiikira ebyo byennyini bwe ndijja nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza, nga nnesiga nti essanyu lyange lye lyammwe mwenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekyo nnakiwandiika bwe ndijja nneme kunnakuwazibwa abo abagwanira okunsanyusa; kubanga mbeesiga mmwe mwenna, ng'essanyu lyange lye lyammwe mwenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyennava mbawandiikira, bwe ndijja, nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza. Nkakasa nti bwe nsanyuka, era nammwe musanyuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekyo nnakiwandiika bwe ndijja abo baleme okunnakuwaza abagwanira okunsanyusa; kubanga nneesiga mmwe mwenna, ng'essanyu lyange lye lyammwe mwenna.