2 Corinthians 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nawandiika nga ndi munakuwavu nnyo, ng'omutima gunnennyise, mu maziga amayitirivu. Saagenderera kubanakuwaza, naye nayagala mutegeere nga bwe mbaagala okuyitirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabawandiikira wakati mu kubonaabona okungi n’okunyolwa mu mutima, era nga nkaaba amaziga mangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala okungi ennyo kwe nnina gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omutima nnabawandiikira n'amaziga amangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala kwe nnina gye muli bwe kuli okungi ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabawandiikira nga ndi mu kubonaabona kungi, nga n'omutima gujjudde obulumi, era nga nkaaba amaziga mangi. Mu kubawandiikira, saagenderera kubanakuwaza, wabula nayagala kubalaga nga bwe mbaagala ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omutima nnabawandiikira n'amaziga amangi, si lwa ku banakuwaza, naye mutegeere okwagala kwe nnina eri mmwe bwe kuli okungi enyo: