2 Corinthians 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba waliwo eyannakuwaza, teyanakuwaza nze, naye – bwe mba siyitirizza mu bigambo – mwenna yabanakuwaza ekiwera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wabaawo eyanakuwaza munne, teyanakuwaza nze, si kulwa nga mbazitoowerera mwenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe wabaawo omuntu eyaleeta okunakuwala, aba tanakuwazizza nze, wabula mmwe mwenna, so si mwenna, nneme okubazitowerera ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wabaawo eyaleetera munne okunakuwala, teyakuleetera nze, wabula ku ludda olumu, bwe mba siyitirizza, yakuleetera mmwe mwenna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu bw'aba annakuwazizza, aba tannakuwazizza nze, wabula mmwe mwenna, so si mwenna, nneme okuzitowa ennyo.