2 Corinthians 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ate musigalidde kumulaga busaasizi na kumugumya aleme kuggwaawo olw'ennaku okumuyitirirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyekiva kisaana mmwe okumusonyiwa n’okumuzzaamu amaanyi si kulwa ng’ennaku emuyitirirako n’emuyinga obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyekiva kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n'okumusanyusa afaanana bw'atyo mpozzi aleme okumirwa ennaku ze nga ziyinze obungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo musaanidde okumusonyiwa, n'okumugumya, aleme okunakuwala ekiyitiridde, n'okuterebukira ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyekivudde kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n'okumusanyusa, afaanana bw'atyo mpozzi aleme okumirwa ennaku ze nga ziyinze obungi.