2 Corinthians 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno emitima gyabwe gyaguguba; n'okutuusa ku lunaku luno olwa leero, bwe basoma endagaano enkadde ekiremba kye kimu kisigala tekibikuddwa, anti kisobola kuggyibwawo Kristu yekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga n’okutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye emitima gyabwe gyakakanyazibwa; kubanga n'okutuusa leero bwe basoma endagaano ey'edda eky'okubikkako kiri kikyaliwo; eky'okubikkako ekyo kivaawo mu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emitima gyabwe gyaguba n'okutuusiza ddala kaakano. Bwe basoma endagaano enkadde, ekibikka ekyo kyennyini tekibaggyibwangako. Ekibikka ekyo kiggyibwa ku abo abeegatta ne Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye amagezi gaabwe gaakakanyazibwa: kubanga n'okutuusa leero eky'okubikkako kiri kikyaliwo mu kusomebwa kw'endagaano ey'edda nga tekinnaggibwawo; ekyo kivaawo mu Kristo.