2 Corinthians 3:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'okutuusa ku lunaku luno olwa leero Musa buli lw'asomebwa, ekiremba kibisse emitima gyabwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’okutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala n'okutuusiza ddala kaakano, ebyawandiikibwa Musa buli lwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikkiddwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe.