2 Corinthians 3:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso ffenna n'amaaso gaffe agatali mabikkeko twakaayakana n'ekitiibwa ky'Omukama, tugenda tufuulibwa nga twekwanya ekifaananyi kye nga bwe tweyongera ekitiibwa ku kitiibwa. Anti ekyo kiva ku Mukama abeera Mwoyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ffe fenna, bwe tuggyibwako eky'okubika ku maaso, nga tulaba ekitiibwa kya Mukama waffe, tukyusibwa okufaananyizibwa nga ye, okuva ku mutendera gumu ogw'ekitiibwa okutuusa ku mulala, kubanga kino kiva eri Mukama gwe Mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo ffe ffenna bwe tuggyibwako ekibikka ku maaso, ekitiibwa kya Mukama kirabikira mu ffe, nga bwe kyandirabikidde mu ndabirwamu. Ekitiibwa ekyo ekiva eri Mukama, ye Mwoyo, kitufuula ne tufaanana nga ye, mu kitiibwa ekigenda nga kyeyongera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ffe fenna, bwe tumasamasa ng'endabirwamu ekitiibwa kya Mukama waffe amaaso gaffe nga gaggiddwako eky'okubikkako, tufaananyizibwa engeri eri okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, nga ku bwa Mukama waffe Omwoyo.