2 Corinthians 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe mwennyini mmwe bbaluwa yaffe; yawandiikibwa mu mitima gyaffe, emanyibwe era esomebwe abantu bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe muli bbaluwa yaffe, etusemba ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, abantu bonna gye bategeera, gye basoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe mwennyini, mmwe bbaluwa yaffe etusemba, ewandiikiddwa ku mitima gyaffe, emanyibwa era esomebwa abantu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe abantu bonna gye bategeera, gye basoma;