2 Corinthians 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si kubanga tulina ke tusobola ku bwaffe, tulyoke tugambe nti waliwo akava gye tuli, wabula obusobozi bwaffe butuviira wa Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
si kubanga fekka tulina obusobozi, okulowooza ekigambo kyonna ng'ekiva gyetuli; naye obusobozi bwaffe buva eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tetugamba nti twemalirira, oba nti tulina kye tukola ku bwaffe, wabula amaanyi gaffe gava eri Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
si kubanga fekka tulina obuyinza, okulowooza ekigambo kyonna nga ekiva gye tuli; naye obuyinza bwaffe buva eri Katonda;